Song of Solomon 4

Owoomukwano

1 aNg’olabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi.
Amaaso go mayiba mu lugoye mw’ogabisse.
Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi
eziserengeta okuva ku lusozi Gireyaadi.
2 bAmannyo go gali ng’ekisibo ky’endiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya,
nga ziva okunaazibwa.
Buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
so tewali eri yokka.
3 cEmimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu;
n’akamwa ko kandabikira bulungi.
Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko
gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.
Amakomamawanga mamyufu

4 eEnsingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi,
ogwatereezebwa obulungi;
ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi,
zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi.
5 fAmabeere go gombi gali ng’abaana b’empeewo,
ab’empeewo, nga balongo,
abaliira mu malanga.
6 gOkutuusa obudde nga bukedde,
n’ebisiikirize nga biweddewo,
ndigenda ku lusozi olunene olwa mooli
ne ku kasozi ak’omugavu.
7 hNg’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange,
toliiko bbala na limu.

8 iJjangu tuve mu Lebanooni, omugole wange,
jjangu tuve mu Lebanooni.
Lengera okuva ku ntikko ya Amana,
n’okuva ku ntikko ya Seniri ne ku ntikko ya Kerumooni,
n’okuva mu mpuku ey’empologoma,
ne ku nsozi ez’engo.
9 jOsenzesenze omutima gwange,
mwannyinaze, omugole wange;
otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye,
n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.
10 kNg’okwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange,
okwagala kwo nga kusinga nnyo envinnyo,
n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi.
11 lEmimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange;
amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo.
Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
12 mOli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange,
era oli luzzi olwasibibwa
Enzizi zaasibibwanga okukuuma amazzi gaamu nga mayonjo.
, ensulo eyateekebwako akabonero.
13 oEbimera byo nnimiro ya mikomamawanga,
erina ebibala byonna eby’omuwendo,
ne kofera n’emiti egy’omugavu
14 pn’omugavu ne kalikomu,
ne kalamo ne kinamoni,
n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna,
ne mooli ne alowe,
wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
15Oli nsulo ya nnimiro,
oluzzi olw’amazzi amalamu,
olukulukuta okuva mu Lebanooni.
Ku ntikko y’Olusozi lwa Lebanooni lwalingako omuzira, ng’eyo amazzi gye gava ne gakola emigga egikulukuta amazzi agatakalira

Omwagalwa

16 rZuukuka gwe empewo ey’obukiikakkono,
naawe empewo ey’obukiikaddyo jjangu.
Empewo ey’obukiikakkono ereeta obunnyogovu era ereka ebibala biramu bulungi. Empewo ey’obukiikaddyo ereeta kibuguumirize, era eyengeza ebibala. Empewo ez’engeri zombi zireeta akawoowo akalungi mu nnimiro

Mukuntire ku nnimiro yange,
akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna,
Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye,
alye ebibala byamu eby’omuwendo.
Copyright information for LugEEEE